Poliisi evuddeyo ku bigambo ebizze bitambula ku mikutu migatta abantu nga byogerwa nti abamu ku bantu abaakwatiibwa mu kwekalakaasa kw’okuwakanya enguzi wiiki ewedde baakakibwa omukwano ogw’ebikukujju.
Wiiki ewedde, mu kwekalakaasa nga bakutte ebipande nga basaba Sipiika wa Palamenti Anita Annet Among okulekulira kuba y’omu kwabo, abaludde nga benyigira mu kulya enguzi, Poliisi yakwata abantu abasukka 80 mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo.
Wabula abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu babadde batandise okussa akazito ku kitongole kya Poliisi okunnyonnyola omuze guno bwe gwatandika okukosezebwa okutulugunya abasibe mu ggwanga lino.
Bano, bazze nga beyambisa emikutu migatta bantu nga basaba Poliisi okuvaayo okwewozaako ku by’okusobya ku bantu abakwatiddwa.
Wabula Poliisi evuddeyo era eyagala oyo yenna alumiriza basajja baayo okukola ekikolwa ekyo okuggulawo emisango bano banoonyerezebwako kubanga ekyo tekikkirizibwa mu nkola yaabwe.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, balina okutegeera
Ani yakikola,
Yakikolera wa
Budde ki?
Yakikola kwani?
Poliisi egamba nti okweyambisa emikutu migatta abantu tekigenda kuyamba, abantu balina okuvaayo okuwa Poliisi amawulire okunoonyereza okuzuula abenyigira mu bintu ebimenya amateeka.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=-KWPjySm8Wk&t=6s