Bannakibiina ki NUP balangiridde munnamateeka Luyimbazi Elias Nalukoola, okulemberamu ekibiina mu kulonda kwa Kawempe North.
Nalukoola asobodde okumegga abantu 9.
Okusinzira ku byavudde mu kakiiko k’ebyokulonda nga kakulembeddwamu Mercy Walukamba,
Magala Umar akutte kyakubiri
Luwemba Muhammad Luswa, eyali omuyambi w’omugenzi Muhammad Ssegirinya – 3
Ssenkungu Kenneth – 4
Salim Sserunkuuma – 5
Rubagumya Charles – 6
Mulumba Mathias – 7
Kulya Saul Zziwa – 8
Nsereko Moses – 9 ate Fredrick Kakiika – 10
Oluvanyuma lw’okulangirirwa, Nalukoola asuubiza okuweesa ekitiibwa kyabwe ekitiibwa ssaako n’okufaayo ennyo ku nsonga ezinyiga abalonzi b’e Kawempe North.
Ku 10 abazze nga begwanyiza kaadi, Luwemba Muhammad Luswa talabiseeko, Nalukoola bw’abadde yebaza eby’okumwesiga okumukwasa kaadi, wabula yegatiddwako abalala 8.
Nalukoola kati agenda kuttunka n’abantu abalala omuli Sadat Mukiibi amanyikiddwa nga Kalifah Aganaga munnakibiina ki FDC, munna NRM Faridah Nambi, Katamba Claudius owa DP n’abalala