Abantu abaali bakwattibwa ku misango gy’okwagala okuggyako Gavumenti mu ggwanga erya Burundi mu 2015 babasalidde ekibonerezo ekikambwe.
Okusinzira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano, bonna abaakwattibwa baasibiddwa mayisa.
Ekiwandiiko kiraga nti abasibe bali 34 nga mulimu bannamaggye ku ddaala lya ‘General’, bannabyabufuzi, bannamawulire, abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu era baweebwa ekibonerezo mu June, 2020.
Mu 2015, amaggye gaali gagezaako okuwamba Pulezidenti Pierre Nkurunziza eyafudde omwaka oguwedde nga 8, June, 2020.
Abamu kw’abo abasingisiddwa emisango kuliko Gen Godefroid Niyombare agambibwa nti yeyakulemberamu okwagala okuggyako Gavumenti ya Nkurunziza, Bernard Busokoza eyali amyuka Pulezidenti, Potien Gaciyubwenge eyali Minisita w’ebyokwerinda.
Abalala kuliko Onesime Nduwimana eyali Minisita w’amawulire, Leonidas Hatungimana eyali omwogezi wa Pulezidenti, Marguerite Barankitse omutunuulizi w’ebyobufuzi, Onesime Nduwimana eyali omubaka wa Palamenti okuva ku ludda oluvuganya.
Wabula Gen Niyombare n’abakungu abalala mu Gavumenti bakyanoonyezebwa.
Mu kiseera kino Burundi ekulemberwa General Évariste Ndayishimiye eyakwata obuyinza nga 18, June, 2020.