Abatuuze b’e Nakawa abali mu kutya olw’ababbi ,nga baana bato okweyongera mu kitundu kyabwe ekyongedde okubatiisa ssaako n’okubalemesa okutambuza emirimu gyabwe.
Abatuuze bagamba nti abaana ababbi, abali wakati w’emyaka 9 ne 15 era nga batambula mu kabinja k’abantu 5 ku 7 okubba ebintu eby’enjawulo omuli okunyakula amassimu, ensawo z’abakyala, okubba ssente, okusika nekireesi z’abakyala ssaako n’ebintu ebirala.
Kigambibwa abaana ababbi basibuka mu kabinja ka bakifeesi era batigomya abatuuze mu bitundu bye Nakawa, Kitintale, Luzira, Mutungo Kasokoso, Kireka ne Banda wakati w’essaawa 1 ey’akawungeezi ne 3 ez’ekiro nga beyambisa ebissi omuli ebyambe, obutayimbwa ssaako ne Peeva nga bazikuba abantu ku mitwe era abasukka 20n bakubiddwa.
Mu lukiiko olukubiddwa ku nsonga z’ebyokwerinda ku Katale e Kitintale nga lwetabiddwamu RDC we Nakawa Anderson Burora, Meeya we Nakawa omulonde Paul Mugambe, omubaka we Nakawa East Omulonde Eng Ronald Balimwezo, adduumira Poliisi ku Jinja Road Robert Katulamu, abasuubuzi ssaako n’abakulembeze ku byalo, abatuuze bagambye nti abaana ababbi, basukkiridde okweyambisa obukodyo obw’enjawulo era bangi ku batuuze batya n’okutambula kumakya nga bagenda ku mirimu ssaako n’ekiro nga banyuse okwewala essaawa za Kafyu.
Abatuuze Nakawa
Ku nsonga ezo, RDC Burora alambuludde entekateeka empya ey’okulwanyisa abaana abato abegumbulidde okutigomya abatuuze omuli okuddamu okuwandiisa abatuuze bonna, aba bodaboda ssaako n’okufuna ebitambulizo ebiraga nti batuuze mu kitundu kyabwe.