Okulabula kuno kwakoleddwa omumyuka wa Bwanamukulu e Lubaga Fr. Anthony Musaala bwe yabadde akulembeddemu mmisa ku lutikko e Lubaga eggulo ku Ssande.
“Mwewale ebikolwa eby’ekko omuli okugulirira abalonzi, okutta, okubba obululu, okukola effujjo, n’ebirala. Waakiri mukkirize babasinge naye nga temwetabye mu bikolwa binyiiza Katonda kubanga bisasulirwa omutango munene nnyo”. Musaala bwe yagambye.
Yagambye nti bw'okkiriza nga bakusinze mu ddembe Katonda akutemera ekkubo n’akutuusa ku birungi ebirala kubanga y’amanyi buli muntu enteekateeka gy’amulinako.
Kyasaliddwaawo e Lubaga okusomanga mmisa kkumi buli lwa Ssande, okusobola okuwa omukisa Abakristu bonna okusinza.
Buli mmisa eggwa Klezia efuuyirwa yonna okutangira akawuka ka Corona okusasaana.
BYA LAWRENCE KIZITO