Abantu 18 bafiiridde mu kuwanyisiganya amasasi mu ggwanga erya South Africa mu bitundu bye Limpopo.<br>Amasasi gabadde wakati wa Poliisi n’ababbi, abaludde nga bateega emmotoka ezitambuza ssente.
</a>
Okuwanyisiganya amasasi kumaze eddakika 90 era ababbi 18 battiddwa okuli abasajja 16 n’abakyala 2 ate omusirikale omu (1) alumiziddwa era atwaliddwa mu ddwaaliro okufuna obujanjabi.
Mu kwekebejja ekifo, Poliisi esobodde okuzuula ebintu ebibwatuka ebyeyambisibwa okumenya enzigi z’emmotoka omuli ssente.
Ate mu ggwanga lya Senegal, Ousmane Sonko akkiriza okuddamu okulya emmere.
Sonko nga yakulembera oludda oluvuganya, yagaana okuddamu okulya emmere oluvanyuma lw’okukwatibwa mu Gwomusanvu ku misango egy’enjawulo.
Sonko nga y’omu ku bavuganya Pulezidenti Macky Sall, yaggulwako emisango omuli okwenyigira mu bikolwa eby’ekitujju, okutaataganya ebyokwerinda by’eggwanga n’okukunga abantu okugyako Gavumenti.
</a>
Kkooti yamusalira okusibwa ebbanga lya myaka 2, nga bangi ku bannansi bagamba nti ekibonerezo kigendereddwamu kumulemesa kuddamu kwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu kulonda kwa 2024.
Wabula ng’ali mu kkomera, yabadde agaanye okuddamu okulya emmere okutuusa abakulembeze b’eddini webamusabye okutaasa obulamu, asobole okuddamu okulya.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=MNvLiFh2EFw