Bya Nalule Aminah
Poliisi e Kanyanya mu Divizoni y’e Kawempe ezudde akambe, omwana omuwala ali mu gy’obukulu 18 kye yakozeseza okwagala okwetta olwa kitaawe, okwagala okumulemesa esannyu ly’omukwano.
Omwana Nakate Naswiba yakomyewo akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande ku lunnaku lwa Valentayine ng’akutte ekimuli kya Valentayine era kigambibwa byamuweereddwa muganzi we.
Wabula kitaawe Kagolo Rajjaba, yavudde mu mbeera era yamukubye emiggo kyokka omwana olwayingidde ekisenge kye, yakutte akambe neyeesala ku bulago okwagala okwetta.
Omwana yasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi era abazadde baasobodde okwanguwa okumutwala mu ddwaaliro ekkulu e Mulago ng’ali mu mbeera mbi.
Kati no, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, agambye nti Poliisi eyingidde mu nsonga ezo, okunoonyereza ku kyavuddeko omwana okwagala okwetta.