Poliisi eri mu kunoonya abantu abaatambuza amawulire ag’obulimba ku bantu 3 abaatambudde nga bali bwereere okumala eddakika eziwera.
Ku mikutu migatta bantu n’okusingira ddala ogwa Face Book ne WhatsApp, kuliko vidiyo eri mu kutambula eraga omukyala, omusajja n’omusajja nga bali mu kutambula nga bali bwereere ku kyalo Katereke, Kyengere mu Tawuni Kanso y’e Nsangi.
Mu vidiyo etambuzibwa, omusajja eyakutte akatambi agamba nti obutamatira, byava mu kulonda, y’emu ku nsonga lwaki omusajja, omukyala ssaako n’omwana, baabadde balina okweyambula okutambula.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango agamba nti okunoonyereza kulaze nti omusajja yabadde musawo wa kinnansi, omukyala ye Nakulema Ssanyu myaka 21 ssaako n’omwana Nasuuna Mariam ali mu gy’obukulu 12.
Onyango agamba nti okutambula nga bali bwereere, Nakulema abadde kiggala nga balina okutambula nga bali bwereere, okutuukiriza emikolo gy’obuwangwa, okusobola okutandika okuwulira.
Onyango agamba nti okutambula tekwabaddemu byabufuzi era balina okunoonyereza lwaki omusajja eyakutte akatambi agamba nti olw’obutamatira byava mu kulonda, y’emu ku nsonga lwaki beyambudde ne batambula.
Onyango Final