Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Isaac Muwata enkya ya leero, lwasuubirwa okuwa ensala ye ku by’okuyimbula Hajji Ali Mwizerwa oba nedda.
Hajji Ali nga mutuuze ku kyalo Bweya, Kajjansi, yakwatibwa olwa mukyala we Nakisuyi Zuula, okuvaayo mu lwatu ng’ali maziga, ng’amulumiriza okusobya ku mwana we, muggya na nnyina myaka 14 ng’ali mu S 2.
Emisango gye, gyasindikibwa dda mu kkooti enkulu okuva mu kkooti esookerwako e Kajjansi wabula bannamateeka be nga bakulembeddwamu Muhammad Nsereko, omubaka wa Kampala Central, baali baddukira dda mu kkooti enkulu mu Kampala okusaba omuntu waabwe okweyimirirwa.
Ku mmande ya wiiki eno nga 2, December, 2024, Hajji Ali yaleeta abantu abagenda okumweyimirirwa.
Abantu kuliko
– Mukwano gwe myaka egisukka 20 Mukasa
– Bamenya Aristo (Taata Omuto)
– Muhereza Dan (LC1 Mutundwe 1), ne
– Imam Serwanga Siraje, mukulembeze w’eddini
Olunnaku olwaleero, basuubira omulamuzi Muwata okubaawo mu buntu, okuwa ensala ye.
Omulundi ogwasooka, omulamuzi Muwata yali agenze mu kutendekebwa, omulundi ogwokubiri yali mulwadde ate ku Mmande yali taliiwo wabula leero, balina essuubi, Hajji Ali okuva mu kkomera, okwewozaako ng’ava mu makaage – https://www.youtube.com/watch?v=LajCJkmgLnk