Essanyu libugaanye aba famire ne mikwano gya Hajji Ali Mwizerwa, omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala, Isaac Muwata bw’akkiriza okusaba kwe, okweyimirirwa ng’alina okweyanjula mu kkooti buli Mmande esambayo mu mwezi n’okutandiika nga 27, Janwali, 2025.
Hajji Ali nga mutuuze ku kyalo Bweya, Kajjansi, yakwatibwa olwa mukyala we Nakisuyi Zuula, okuvaayo mu lwatu ng’ali maziga, ng’amulumiriza okusobya ku mwana we, muggya na nnyina myaka 14 ng’ali mu S 2.
Emisango gye, gyasindikibwa dda mu kkooti enkulu wabula bannamateeka be nga bakulembeddwamu Muhammad Nsereko, baali baddukira dda mu kkooti enkulu okusaba omuntu waabwe okweyimirirwa.
Enkya ya leero, omulamuzi Muwata akaanyiza n’okusaba kwa Hajji Ali ssaako n’abantu beyaleeta okumweyimirira.
Hajji Ali yaleeta abantu omuli
– Mukwano gwe myaka egisukka 20, Mukasa
– Bamenya Aristo (Taata Omuto)
– Muhereza Dan (LC1 Mutundwe 1), ne
– Imam Serwanga Siraje, mukulembeze w’eddini
Bonna 4, basabiddwa ssente obukadde 10 ezitali za buliwo ate Hajji Ali asabiddwa ssente obukadde 2 ez’obuliwo.
Omulamuzi Muwata awadde ensala ye wakati mu kkooti ebadde ekubyeko abantu nga ne kabiite wa Hajji Ali, Nakisuyi Zuula abaddewo nnyo.
Wadde Hajji Ali ayimbuddwa, kati balinze kkooti enkulu, okusaawo olunnaku, emisango gye okutandiika okuwulirwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=LajCJkmgLnk