Omulambo gwa Muhammad Ssegirinya gutuuse ku Palamenti y’eggwanga okusiima emirimu gye ng’abadde omubaka wa Kawempe North.
Ssegirinya yafiiridde mu ddwaaliro e Lubaga olunnaku olw’eggulo.
Okusinzira ku ntekateeka eyalangiriddwa Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), Ssegirinya agenda kuziikibwa ku Ssande nga 12, January, 2025 e Masaka.
Enkya ya leero ku Lwokutaano, omulambo gutwaliddwa ku Palamenti, okusiima emirimu gye.
Oluva ku Palamenti, bagenda kumusaalira ku muzikiti gwa Mbogo
Okuva ku muzikiti gwa Mbogo, bagenda kutwala omulambo gwe mu makaage e Kasangati.
Enkya ku Lwomukaaga, bagenda kutwala omulambo gwe e Masaka
Ssegirinya agenda kuziikibwa ku Ssande – https://www.youtube.com/watch?v=OoOC_F9LH9c&t=10s