Omuyimbi Rema Namakula ali mu kutya era bambi obufumbo bwe bwolekedde okusanawo mu bbanga ttono.
Mu Uganda, Rema y’omu ku bakyala abalabika obulungi ate mu kisaawe ky’okuyimba, y’omu ku bakyala abalina talenti, abakola obulungi.
Ku ludda lw’okuyimba, alina ennyimba ez’enjawulo ezimufudde omuyimbi omulungi omuli Ekyama, Banyabo, Sili Muyembe, Akaliro, Tikula, Deep in Love n’endala era y’omu ku bakyala abalina eddoboozi eddungi mu kuyimba.
Rema ayimba bulungi bambiRema wadde abadde alina ebimusomooza, asigadde akola bulungi nnyo mu kisaawe ky’okuyimba.
Lwaki obufumbo bwolekedde okusanawo?
Mu 2019, Rema yasuulawo muyimbi munne Eddy Kenzo oluvanyuma lw’okumuzaalira omwana omu era amangu ddala, yayanjula omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde be.
Mu kwanjula kwa Rema, Omusajja Dr. Ssebunya yatwala ebintu bingi ddala era omukolo gwali gwa bukadde bwa ssente nga gwaliko abakungu ab’enjawulo mu Gavumkenti ssaako ne Maama wa Buganda Nnaabagereka Sylvia Nagginda.
Rema wadde alina omwana nga kigambibwa ne Dr. Ssebunya naye alina omwana omu okuva mu mukyala we eyasooka, aba famire y’omusajja balemeddeko okubanja Rema omwana.
Okusinzira ku Harriet omu ku mukwano gwa Rema, waliwo baganda b’omusajja abalemeddeko nga bagamba nti wadde omukyala sereebu (Rema), alina okuzaalira omwana waabwe omwana kuba naye musajja yetaaga abaana.
Rema ne bba SsebunyaHarriet era agamba nti waliwo baganda b’omusajja abagamba nti Rema asukkiridde okweyambisa ‘Family Planning’ nga tayagala kuzaalira mutabani waabwe era bw’aba tayagala kuzaala, tewali nsonga yonna lwaki yakkiriza okutwala okwanjula omusajja mu bazadde be.
Mu 2020 waliwo ebigambibwa nti Rema ali lubuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okulwanyisa Covid-19 kyokka oluvanyuma kyategerekeka nti Rema tali lubuto.
Waliwo omusajja ategerekeseeko erya Hakim nga musuubuzi mu Kampala era mikwano gy’abagagga kwagalana, agamba nti waliwo abagagga abamu abatandise okuwa Dr. Ssebunya amagezi okunoonya omukyala omulala okuzaala bw’aba Rema agaanye okuzaala.
Wabula Harriet agamba nti wadde Rema ali mu ssanyu ne bba Dr. Ssebunya, akazito akateekeddwa ku bba okumuzaalamu omwana oba okunoonya omukyala omulala, kabonero akalaga nti obufumbo bwa Rema buyinza okusanawo.
Okumanya ebifa mu ggwanga ebirala https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/186472053076480