Basiimye gavumenti okubakolera oluguudo lwa Nyendo Masaka – Kijjabwemi olubadde lufuuse ekizibu mu kibuga Masaka ne basaba luteekebweko amataala ga maanyiganjuba (Solar lights) okwewala enzikiza kubanga amasannyalaze ga bbeeyi ate gavavaako.
Bino abatuuze baabyogeredde ku mukolo gw'okutongoza okuzimba oluguudo lwa Nyendo – Kijjabwemi olubadde luzing'amizza ebyentambula mu kibuga wamu n'ebyenfuna olwebinnya n'enfuufu.
Minisita w'ebyentambula n'enguudo, Gen. Edward Katumba Wamala bwe yabadde atongoza omulimu gw'okukola oluguudo luno yategeezezza nti omulimu guno gwakumala emyezi munaana gyokka era nga gwakukolebwa kkampuni ya Chongqing International Construction Cooperation (CICO) okuva e China.
BYA PADDY BUKENYA