EBYOKWEGWANYIZA ebifobyobukulembezi ebitali bimu bituuza ababyegwanyiza obufofo.
Mu kiseera kino,abakulu bano tebakyasubwa mikolo naddala egy'okutongozza pulojekiti z'eggwanga ngabaluubirira okulabika nti balina kye basakidde abantu.
Kino kyalabikidde mu kutongozza omulimo gw'okukola oluguudo lwa Nyendo mu kibuga Masaka.
Bannabyabufuzi bangi aba NRM n'abooludda oluvuganya tebaalutumiddwa mwana era baalabiddwako nga beesooka ku mwanjo we balabikira.
N'abamu bakira bekubisa ebifaananyi n'omugenyi omukulu Minisita Edward Katumba Wamala.
Bya Ssennabulya Baagalayina