Bwabadde antongoza enteekateeka eno etuumiddwa 'Kaveera free from place of worship' Ssabalabirizi w'ekkanisa ya Uganda, Dr. Steven Kazimba Mugalu asabye Govumenti okussaawo amateeka amakakali eri abantu aboonoona obutonde bwensi nga bamansa obuveera buli we basanze.
Kazimba era ategezeza nti mukawefumbe Ono gwebatandise, buli kkanisa erina okusimba emiti nga buli lwe babatiza oba okussaako emikono balina okusimba emiti egyenkana n'abaana abo era n'abakyala abalina embuto nabo basabiddwa okusimba emiti ku lw'obulungi bw'abaana baabwe.
Ssaabalabirizi era agambye nti tebagenda kukkiriza muntu yenna kuyingira kkanisa ng'alina akaveera.
Oluvannyuma Kazimba asimbye omuti mu makaage e Namirembe.
Bya Barbra Namyalo