Denis Nsimbi alina emyaka 31 embeera gyayitamu eyungula eziga anti yali musajja muwanvu ate nga wakiwago naye kati bw’omulaba yewuunyisa kubanga obulwadde bwamuyimpaya n’enyama yona n’egenda.
Obulwadde buno bwamukwata mu 2015 naye n’okutuusa kati abasawo obulwadde bwababula.
Kati okugyako okusiibirira amakerenda agakendeeza ku bulumi oba Pain Killer tewali kirala kyakozesa nti kimuwonye.
Kati waliwo ebirala abasawo byebamugamba agende yeekebeze abizze naye ne ssente ezimutwalayo zaamubula.
#AgafaEyo #SparkTvUganda
For more news visit http://www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter http://www.twitter.com/sparktvuganda
Like our Facebook page http://www.facebook.com/SparkTVUganda