Abatuuze b’e Masajja, e Makindye bakedde mu kiyongobero ne bakubira Poliisi ssimu, ku mulambo gw’omusajja ogusangiddwa nga gusuuliddwa mu kitundu.
Omusajja attiddwa abadde mu gy’obukulu 30, nga yakubiddwa ku mutwe, omugongo ate nga yenna ayambuddwa, wakati mu kitaba ky’omusaayi.
Abatuuze nga bakyawuninkiridde, Poliisi y’omu Kikajjo etuuse era omulambo gugiddwawo ne gutwalibwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, kiteeberezebwa nti omusajja yattiddwa abatuuze wabula okunoonyereza kutandikiddewo.
Mungeri y’emu agambye nti omulambo tegusangiddwamu kiwandiiko kyonna nga ne ku kyalo tamanyikiddwa.