FAMIRE YA SEYA EYOGEDDE KU BY'OKUZIIKA
Ffamire w'eyaliko Meeya wa Kampala, Al_Hajji Nasser Ntege Ssebaggala, basazeewo nti omugenzi aziikibwe oluvannyuma lw'abaana be abali e Bulaaya nga bamaze okutuuka.
Enteekateeka ziraga nti wakuziikibwa wiiki ejja ku Lwokubiri, wabula singa abaana be banaaba tebannaba kutuuka mu Uganda, bayinza okwongezaayo okumuziika. Farouk Ntege, muto w'Omugenzi agamba nti byona bye basazeewo babyesigamizza ku kiraamo omugenzi kye yaleka.
Wadde nga eddiini ye tekkiriza kumusuzaawo, mu kiraamo kye, Ssebaggala, yagamba nti tajja kuziikibwa nga muntu wabulijjo.Omulambo gwe, gukwasiddwa aba A-Plus Funeral Service okugukuuma, okutuusa lw'anaziikibwa…Bya Stuart Yiga