Poliisi ya Kampala mukadde esobodde okukwata omusajja Tumwine David amanyikiddwa nga Busoni myaka 40 okuva e Mubende ku misango gy’okusangibwa n’emmundu ssaako n’amasasi mu ngeri emenya amateeka.
Tumwine asangiddwa n’emmundu ekika kya SMG, amasasi, magazini ez’enjawulo, ejjambiya 3, eccupa z’amafuta ga Petulooli, emiguwa ssaako n’ebintu ebirala.
Okusinzira ku Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, omukwate asangiddwa mu Kisenyi mu Kampala mu ppaaka ya bbaasi.
Owoyesigyire, agamba nti yazuuliddwa, abakola ku byokwerinda mu ppaaka wakati mu kwekebejja emigugu gy’abasaabaze, ne batemya ku Poliisi mu bwangu ddala.
Mu kiseera kino, Poliisi etandiise okunoonyereza, okuzuula ebituufu, ebikwata ku Tumwine ssaako n’okuzuula ekigendererwa ky’ebyokulwanyisa ebisangiddwa nabyo.
Poliisi egumizza abantu ku byokwerinda mu kiseera nga ennaku enkulu zikubye kkoodi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=uoVw9Bn02xI