Poliisi mu bitundu bye Kaliro eriko abantu bekutte ku ttemu eryakoleddwa ku famire yonna olunnaku olw’eggulo.
Ku kyalo Budini Nyanza Zone mu tawuni Kanso y’e Kaliro.
Abantu 3 battiddwa, nga babasibidde mu nnyumba, ne bagikumako omuliro.
Abatiddwa kuliko
Ssemaka Kaiga Muhammad myaka 64
Mukyala we, amannya tegategerekese
N’omutabani Swagga Amuza myaka 26
Kigambibwa, olunnaku olw’eggulo ku makya, omutabani Swagga Amuza yabadde akedde okulima mu nimiro y’emiyembe, wabula nga yakatuuka, waliwo abantu abamulumbye era bwatyo, yasobodde okudduka okuddayo awaka.
Abantu bamugoberedde era bwayingidde mu nnyumba okwetaasa emiggo, babasibiddeyo ne bagikumako omuliro.
Abatuuze abalala webatuukidde okutaasa nga bonna bafudde ate Poliisi wetuukidde nga bonna bafuuse bisiriiza.
Webukeeredde nga Poliisi eriko abantu bekutte okuli
– Ssentebe w’ekyalo Wangule Abdu 62
– Waiswa Simon 40
– Kiige Willy 64 ne
– Njagi lsma 20 years.
Okunoonyereza kulaga nti akataka okuli emiyembe, omutabani Swagga Amuza gy’abadde akedde okugenda okulongoosa, kuliko enkayana.
ASP Kasadha Micheal – Omwogezi wa Poliisi e Busoga North agamba nti balina okunoonyereza okutuusa nga bazudde abali mu kikolwa ky’ettemu ku famire yonna.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=zVLVwB5C3Qs