<br>
Kyaddaki Poliisi ekutte omukyala, eyakutte ejjambiya natematema bba okutuusa lwe yamusse ku kyalo Kyogera mu ggoombolola y’e Karama mu disitulikiti y’e Kibaale.
Omukyala Yusta Kasapuli myaka 27, yakutte ejjambiya natematema bba Paul Kingi myaka 27, ku mutwe emirundi egiwera ssaako n’obulago era yafiiriddewo ku ssaawa nga 6 ez’ekiro ku Lwokusatu.
Kigambibwa, omusajja Kingi yalemeddeko nga yetaaga okusinda omukwano ate ng’omukyala kigambibwa yabadde mukoowu nga yakava ewa muganzi we ow’ebbaali, ekyavuddeko okusika omuguwa.
Kingi olwalemeddeko nga yetaaga okwesa empiki, omukyala yavudde mu mbeera, ekyavuddeko okulwanagana n’omukyala okukwata ekiso okutta omusajja.
Wabula omukyala Kasapuli asangiddwa ku kyalo Hapuyo mu disitulikiti y’e Kyegegwa gye yabadde addukidde ng’agezaako okwetta.
Omukyala asangiddwa ng’amaze okunywa obutwa era addusiddwa mu ddwaaliro okutaasa obulamu.
Ate ssentebe wa LC 3 mu ggoombolola y’e Karama George Muhokota, awanjagidde abatuuze okweyambisa Poliisi ku buli nsonga yonna okusinga okutwalira amateeka mu ngalo.
Omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Julius Hakiza, agambye nti omukyala asindikiddwa ku kitebe kya Poliisi e Kibaale ku misango gy’okutta omuntu.
Ate Poliisi y’e Busoga East enkya ya leero, ekedde kukwata maama Eseza Nabirye myaka 29, omutuuze ku kyalo Walugogo mu ggoombolola y’e Imanyiro mu disitulikiti y’e Mayuge ku misango gy’okutta omwana we Ivan Makuube myaka 7.
Kigambibwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, maama Nabirye yabadde afumbye emmere ya kawunga kyokka yagenze okudda awaka, nga mutabani we Mukuube, emmere yonna agiridde ate nga naye enjala emuluma.
Maama yakutte omwana, namutimpula emiggo, empi n’ensambaggere, okutuusa omwana lwe yafudde.
Amangu ddala, omulambo yaguzinze mu ssuuka nagutwala wansi w’ekitanda kye, okutuusa omu ku baana be, myaka 4 bw’atemeza ku batuuze enkya ya leero.
Abatuuze, batemeza ku Poliisi era mu kwekebejja ennyumba, omulambo gusangiddwa wansi w’ekitanda.
Maama Nabirye abadde amaze okudduka era Poliisi emukwatidde mu katawuni k’e Maganda mu disitulikiti y’e Mayuge enkya ya leero.
Omulambo gw’omwana gusindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mayuge okwekebejjebwa nga ne nnyina atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Mayuge ku misango gy’okutta omuntu.
Ate abatuuze bagamba nti obwavu n’ebintu okweyongera okulinya, y’emu ku nsonga lwaki ebikolwa ng’ebyo byeyongedde.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=rqNzDC7v-hA&t=759s