<br>
Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akungubadde, abadde omusajja emekete, munnabyanfuna Hajji Bulaim Kibirige Muwanga amanyiddwa nga BMK afudde enkya ya leero.
BMK omutandisi wa Hoteero Africana afiiridde mu ddwaliro lya Aga Khan mu kibuga Nairobi mu ggwanga lya Kenya, era nga afudde Kansa, akulungudde emyaka egisukka 6, ng’amutawanya.
Wafiiridde abadde akozesa abakozi abasukka mu 1, 000 era mu Uganda, abadde mu 10 abasooka, abenyigidde mu kusika ensimbi mu ggwanga.
Kati no, omukulembeze w’eggwanga asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter, okutegeeza nti BMK akoze nnyo mu kulakulanya Uganda ne Africa era eggwanga lyakulwawo nnyo nga limujjukira.
Wabula abasuubuzi, ab’emikwano, bannadiini, bannabyabufuzi, abantu babuligyo, bakunganide mu maka g’omugenzi e Naguru mu Kampala, okusaasira famire ssaako n’okungubaga.
Omusasi waffe Kabagenyi Florence awayizaamu n’abantu ab’enjawulo omuli omugagga Godfrey Kirumira era bagambye nti BMK abadde akoze nnyo mu kukyusa obulamu bw’abantu, abadde musajja mukakamu, omuwi wamagezi eri abasuubuzi abato era eggwanga lifiiriddwa nnyo.
Aba aba famire nga bakulembeddwamu Ngobi Isaac, bagambye nti mikwano gy’omugenzi gisobodde okupangisa ennyonyi okuleeta omulambo okuva e Kanya.
BMK wakuziikibwa Nkoowe, ku luguudo oludda e Hoima ku Ssande.
BMK alese ebintu ebyenjawulo omuli
- Hotel Africana Kampala, 2-4 Wampewo Avenue, Kololo Hill, Kampala, Uganda
-
Hotel Africana Moroto, Moroto City, Uganda[6]
-
Hotel Africana Lusaka, Lusaka, Zambia
-
BMK Motorcycles (U) Limited, Nateete, Kampala, Uganda
-
BMK Motorcycles (K) Limited, Nairobi, Kenya
-
BMK Motorcycles (T) Limited, Dar es Salaam, Tanzania
-
BMK Motorcycles (R) Limited, Kigali, Rwanda
-
BMK Motorcycles (Z) Limited, Lusaka, Zambia
-
Hotel Africana Forex Bureau 1, 2-4 Wampewo Avenue, Kampala, Uganda[7]
-
Hotel Africana Forex Bureau 2, 16-18 William Street, Kampala, Uganda
-
BMK Construction Leasing Company, Kigali, Rwanda
-
BMK Oil Equipment Company, Kampala, Uganda[8].
BMK yazaalibwa nga 2 October 1953 era afiiridde ku myaka 68.
BMK wumula mirembe!