Poliisi y’ebidduka evuddeyo ku bigambibwa lwaki emmotoka ezegulidde erinnya mu kweyambisibwa ebitongole ebikuuma ddembe mu kunoonya abantu okusibwa ezimanyiddwa nga zi ‘Drone’ ezimu tezibaako namba wakati mu kutambuza emirimu.
Mu kiseera kino Uganda, bangi ku bannayuganda bali mu kutya ku mmotoka zi ‘Drone’ olw’engeri gye zikutte akati mu kutwala abantu.
Wabula akulira Poliisi y’ebiduduka mu Kampala Lawrence Niwabiine agamba emmotoka za ‘Drone’ bweziba zireetebwa mu Uganda, zibeera ne namba entono ezivaako nezigwa mu makkubo era y’emu ku nsonga lwaki ezzimu zitambula, tekuli nnamba.
Niwabiine agamba nti tewali mmotoka yonna ekkirizibwa kutambula nga tekuli nnamba kyokka singa ziggwa, bannayuganda okulaga nti bafaayo, banguwa okuvaayo okulaga nti emmotoka zaabwe, tekuli nnamba newankubadde ensonga ebeera ekolebwako.