<br>
Ssemaka avudde mu mbeera bw’akutte mukyala we ng’ali mu kaboozi n’omusiguze.
Okusinzira ku vidiyo, ssemaka alaga nti omukyala abadde tasuubira nti agenda kudda awaka, ng’emu ku nsonga lwaki yasobodde okuleeta omusajja mu nnyumba.
Ssemaka musajja musuubuzi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo era omukyala yabadde amusuubira kudda ku wikendi.
<a target="_blank" href="https://urldefense.com/v3/__http:/thevoice.africa/__;!!JhKdOwKRoV0QTA!rYVR_Qqse-vOS53kf1UeIx5dpVo5JWAlwqkeTtw9a0tKRudKxLG19vmL97iA6OcUL4oqma4FNNn3BiOh0vV9_daIVserQSKsNrEy4tU%24" rel="noopener">
</a><a></a>
Wadde omusajja alina emmotoka, agamba nti yagiwadde makanika okukola saviisi y’emmotoka era yatambudde okutuuka awaka.
Omukyala yabadde mu kisenge n’omusiguze nga tasuubira nti bba ayinza okudda era wakati mu kusinda omukwano, yabadde mu ssanyu lya ku nsi.
Obwenzi
Wakati mu kwesa empiki, ssemaka yatuuse mu kisenge ng’omukyala yonna agiwadde omusiguze ‘mbu daddy, yonna nkuwadde’ mu lungereza.
Ssemaka yalemesezza omusiguze okudduka, kwe kulagira mukyala we, okupakinga engoye ze, okugenda n’omusiguze.
Omusajja n’omukyala ebigambo byabaweddeko nga ssemaka alemeddeko, omukyala amuviire mu makaage.
Ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, omukyala yalabiddwako ng’afuluma ggeeti mu mmotoka n’omusiguze.
Tekimanyiddwa oba ssemaka yamuwadde ebintu bye byonna.
Embeera yonna ebadde mu ggwanga erya South Africa mu bitundu bye East London.
Okunoonyereza kulaga nti abasajja bangi okulemwa okuwa abakyala obudde mu nsonga z’omu kisenge, y’emu ku nsonga lwaki obwenzi bweyongedde.
Kigambibwa, abakyala okuba n’ennyonta y’omukwano, kivuddeko abakyala bangi okukola ensobi, okudda mu bwenzi nga kivudde ku basajja, okudda mu kunoonya ssente ne balemwa okufaayo ku nsonga z’amaka.
Abakugu era bagamba nti olw’abasajja oba abakyala okulemwa okufaayo ku nsonga z’omu kisenge, kivuddeko n’okwawukana mu bafumbo okweyongera, obutabanguko mu maka, ekivuddeko abantu okwetta n’ebizibu ebirala.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=5kpCY2-uBpI