Omusajja wa bodaboda ali mu myaka 27 awonye emiggo gy’abatuuze, bw’asangiddwa ng’ali ne muk’omusajja.
Omuvubuka tamanyikiddwa ku kitundu wabula akwatiddwa lubona ng’ali mu laavu ne maama Jane.
Maana Jane yakomyewo awaka ku ssaawa 12 ez’akawungeezi, kwe kulagira abaana okugenda okuzannya ku mulirwano.
Oluvanyuma omuvubuka yatuuse ng’ali ne mukwano gwe ku Pikipiki kyokka mukwano gwe yasobodde okugenda ne Pikipiki.
Ku ssaawa nga 12:30 ez’akawungeezi, omusajja yakomyewo awaka, kwe kusanga mukyala we n’omuvubuka wa bodaboda.
Omuvubuka yabadde agezaako okutema omukyala sipeeya, omusajja weyatuukidde.
Taata Jane wadde yakubye enduulu okuyambibwa, omuvubuka yamutomedde mu bugenderevu ku mulyango, okusobola okudduka.
Bino byonna byabadde ku kyalo Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga.
Oluvanyuma lw’omuvubuka okudduka, taata Jane yatabukidde maama Jane okuleeta omusajja mu nnyumba wabula omukyala yamutabukidde okumuswaza mu bantu kyokka oluvanyuma yapondoose, kwe kusaba bba ekisonyiwo.
Okuvaawo nga taata Jane akubidde Nnabakyala w’ekyalo essimu, okuggya okuyingira mu nsonga nga n’abatuuze batabukidde omukyala, okutambuza obwenzi mu bufumbo.
Muk’omusajja….
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Yko8o6oiuCg