Ebya Besigye bibi
Kyaddaki ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo ku ky’okutwala abantu babuligyo mu kkooti y’amaggye.
Museveni agamba nti olw’abantu abakyamu okwenyigira mu kutta abantu nga beyambisa emmundu, y’emu ku nsonga lwaki Palamenti, yakkiriza okutwalibwa mu kkooti y’amaggye ne bakola etteeka 2005.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa enkya ya leero, Museveni agamba nti kkooti za buligyo, zirina emisango egy’enjawulo omuli
Obutemu
Okusobya ku bakyala
Obubbi
Ekibba ttaka
Obutakaanya mu maka n’ensonga endala nga kyali kizibu ate okuwuliriza emisango gyekuusa ku mmundu ate mu bwangu.
Museveni era agamba nti emisango gy’okutebenkeza emirembe, gyetaaba bwangu, nga y’emu ku nsonga lwaki kkooti y’amaggye yasibwawo.
Pulezidenti Museveni
Agamba nti singa omuntu yenna azuulibwa nti alina emmundu mu ngeri emenya amateeka, alina kutwalibwa mu kkooti y’amaggye.
Museveni agamba nti kkooti y’amaggye ekoze kyamaanyi mu kutebenkeza ebyokwerinda by’eggwanga lino omuli e Karamoja ssaako n’ebitundu ebirala.
Jjajja Museveni agamba nti kkooti y’amaggye nayo eringa kkooti endala, omuntu yenna singa asingisibwa emisango asibwa nga bwe kiri mu kkooti endala ssaako n’okuyimbula abatalina misango.
Pulezidenti Museveni
Mu kiwandiiko era agamba nti singa omuntu asingisibwa emisango, alina eddembe lye, okujjulira bw’aba tamatidde.
Museveni era agamba nti Uganda kati erina emirembe olw’abantu abali bagezaako okutataaganya eggwanga, okusindikibwa makkomera omuli Kitalya.
Museveni era asigadde yebuuza lwaki bannamateeka abayivu, tebasobola kulaba birungi bya kkooti y’amaggye ng’abantu babuligyo (Mwanainchi) babilaba.
Agamba nti singa basaawo okulonda ku ky’okutwala abantu babuligyo mu kkooti y’amaggye n’okusingira ddala mu bitundu ebikoseddwa ennyo nga Karamojja, abantu 100 ku 100, bagenda kukiwagira.
Museveni mu kiwandiiko atenderezza kkooti y’amaggye olw’okuyambako okutebenkeza eggwanga lino.
Agamba nti asobodde okulagira omuddumizi w’amaggye okwekeneenya Abakaramoja abali makkomera, okulondamu abayinza okusonyiyibwa nga bwe yasabiddwa abatuuze b’e Karomoja ate abazzi b’emisango abamanyiddwa, bagira basigala mu kkomera.
Ebigambo bya Ssaabalwanyi Mukulu Museveni bigidde mu kiseera nga bangi ku bannamateeka bawakanya eky’okutwala Dr. Kizza Besigye ne munne Hajji Obeid Lutale Kamulegeya mu kkooti y’amaggye ate nga bonna bantu babulijjo.
Besigye ne Lutale mu kkooti y’amaggye
Ebigambo bye, era byongedde okulaga nti Besigye ne Lutale, kkooti y’amaggye erina obuyinza okuwulira emisango gyabwe.
Besigye ne munne Lutale, bali ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa omuli emmundu, amasasi mungeri emenya amateeka ssaako n’okutekateeka, okutaataganya ebyokwerinda nga bakwatibwa mu ggwanga erya Kenya, bwe yali agenze okwetaba ku mukolo gw’okutongoza ekitabo kya munnabyabufuzi Martha Karua.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=FNZO2YNsTSI