Kkooti e Makindye eyongezaayo emisango egivunaanibwa omuyimbi Mulwana Patrick aka Alien Skin Ug.
Alien Skin, yakwatibwa ku misango egiwerako omuli nga 28, September, 2024 e Makindye, Kampala mbu yeenyigira mu kubba essimu ya Mubiru Salim ekika kya Iphone 15 PRO, ssente 480,000 ne Wallet omwali National ID n’ebirala.
Ate nga 19, November, 2024, yeenyigira mu kuba omusawo ne basikaali 2 ku ddwaaliro e Nsambya, webaali batutte munaabwe Joram Tumwesigye myaka 28 okufuna obujanjabi kyokka naafa nga bakatuukayo.
Enkya ya leero, omuwaabi wa Gavumenti talabiseeko, ekiwaliriza omulamuzi okwongezaayo omusango okutuusa nga 17, Febwali, 2025.
Kinajjukirwa nga 28, November, 2024, omulamuzi wa kkooti esookerwako e Makindye, Esther Adikin yayimbula Alien Skin, kakalu ka kkooti ya miriyoni emu ey’obuliwo ne Kanyama we Mugabi Julius amanyiddwa nga Julio.
Omulamuzi yabalagira okudda mu kkooti enkya ya leero, era Alien Skin akedde mu kkooti okweyanjula.
Andrew Wambi, Munnamateeka wa Alien Skin agamba nti balina essuubi nti 17, Febwali, 2025, omulamuzi ayinza okugoba omusango kuba enteseganya n’abantu abatwala emisango mu kkooti zaggwa dda. Ate Alien Skin agamba nti okudda mu kkooti, kabonero akalaga nti musajja atambulira ku mateeka – https://www.youtube.com/watch?v=OoOC_F9LH9c&t=11s