Poliisi mu Kampala, efulumizza alipoota esookerwako ku muliro, ogwakute ekizimbe kya ‘Sunrise Hotel‘ e Namayuba, Kampala, olunnaku Olwokusatu.
Alipoota ekakasiza nti abantu 2 baafiiridde muliro okuli munnansi wa Tanzania – Mwindadi Shineni ne South Sudan – Akot Akol Arop Chan.
Abantu 20 bataasiddwa nga beyambisa obukodyo obwenjawulo omuli okubayisa maddinisa.
Abantu 9 nga bali mu mbeera mbi, bali mu ddwaaliro ekkulu e Mulago
Mu kunoonyereza, Poliisi egamba nti omuliro gwatandikidde wansi ku mwaliiro ogusooka ku Resitolanti.
Alipoota eraga nti ate wansi ku Resitolanti, wabaddewo abatabula sabuuni, amanyikiddwa nga ‘liquid soap’ nga tekimanyiddwa oba ddala kye kyavuddeko omuliro wakati mu kutabula sabuuni.
Ku nsonga y’omuliro okwokya ennyo ekizimbe, Poliisi egamba nti ekizimbe tekyabaddeko byuma bizikiza muliro ate nga omukka mungi nnyo.
Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, alambuludde ku nsonga ezo. – https://www.youtube.com/watch?v=UjBNO1PqyMw&t=5s