OLWALEERO lwe lunaku Olwokutaano ng'akakiiko k'ebyokulonda kawandiisa bannabyabufuzi abeegwanyiza ebifo by'obukulembeze mu magombolola ne disitulikiti.
Ekiri ku ggwandiisizo e Kalungu kisakinegula olw'obungi bw'abeesimbyewo ebeeyongedde okuyiikayo n'ebiwandiiko byabwe.
N'omulundi guno akulira eby'okulonda Muky. Ann Namatovu n'abakozi be bakola butaweera okubatuusaako obuwereeza bwonna.
Bangi basinze kwesimba ku bwakansala.
ByaSsennabulya Basgalayina