Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr Stephen Kazimba Mugalu asabye ekkanisa ezitannaba kwetegeka obutaggulawo kusaba kitangire okusasaana kw’akawuka ka coronavirus.
Kazimba asinzidde mu kusaba mu maka ge e Namirembe n'agamba nti wadde pulezidenti Museveni yaggulawo amasinzizo naye waliwo abatannaba kuteeka byetaagisa ku kkanisa nga kino kyebalina okusooka okukola balyoke baggulewo.
Ategezezza nti ekkanisa zirina okuba n’obuuma obukebera ebbugumu, ebitabo mwe bawandiika abayingira mu kkanisa, amazzi oba sanitayiza anabwa mungalo n'ebirara nga bino ekkanisa ezimu zibadde tezinaba ku biteeka mu nkola…Bya Peter Ssaava