Ekitongole ekivunanyizibwa ku kuwandiisa bannayuganda ekya NIRA kyongezza ebisaale by’obuweereza bwe kiwa bannayuganda gamba nga okukyusa amanya ku densite kati omuntu asasula ssente 200,000 mu kifo ssente 50,000 nga bwekibadde.
Ebbaluwa y’obuzaale eri abaana abali wakati w’emyezi omusanvu n’emyaka mukaaga esasulirwa omutwalo gumu (10,000) mu kifo ky’ekumi n’ettaano (50,000) nga bwegubadde.
Okusinzira ku NIRA, omuntu yenna okufuna Densite mu Uganda
Okuzzaawo ebuze – 50,000
Ekulubuse oba eyonoonese – 200,000
Okugifina omulundi ogusooka – Bwereere
Okukyusa amannya ku Densite – 150,000
Okukyusa ebikukwatako ku Densite – 200,000
Okutereeza ensobi – 200,000
Omuntu yenna okufuna ebbaluwa y’obuzaale, waggulu w’emyaka 18 – 50,000.
Okukyusa amannya ku bbaluwa y’obuzaale – 150,000
Okufuna ebbaluwa eraga nti omuntu yafudde mu bbanga lya mwaka gumu (Death Certificate) – Bwereere
Okusinzira ku mwogezi wa NIRA, Osborn Mushabe, abantu balina okuwa ekiwandiiko kya Gavumenti ekitiibwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=iabhuH6WeYk