Okukamula juyisi mu vuvuzera..
Mu nsi y’omukwano, omuntu yenna alina okulaga nti kafulu mu nsonga za laavu era y’emu ku nsonga lwaki abantu bakola ebintu eby’enjawulo okuwa abantu baabwe essanyu.
Mu nsi yonna, omwezi gwa Febwali, mwezi gwa laavu mu baagalana kuba mulimu olunnaku lwa Valentayini.
Mu kiseera kino, abali mu laavu batandiise okukola ebintu eby’enjawulo, okulinyisa ggiya zaabwe ez’omukwano.
W’osomera bino nga waliwo vidiyo eri mu kutambula ku mikutu migatta abantu, eraga kye bayita omukwano.
Vidiyo esooka, eraga omuwala ng’ali kulongoosa mannyo ga muganzi we wakati mu laavu nga bali ku kitanda.
Mu vidiyo, omuwala alaga nti yabadde atya okunywegera muganzi we nga mukamwa mulimu ebikyafu.
Ng’omuwala ategeera omukwano, yasobodde okulongoosa omusajja, oluvanyuma kwe kudda mu kwesa empiki.
Mu vidiyo endala, omuvubuka alaga nti yabadde mukoowu nnyo oluvanyuma lw’omuwala okugimuwa yonna nga tewali kwekwasa nsonga yonna, okukamula juyisi mu vuvuzera.
Ku mulembe guno, abantu okweraga omukwano ku mikutu migatta bantu kweyongedde era y’emu ku nsonga lwaki ne vidiyo ezitambula nga bali mu laavu zeyongedde.
</a>
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=s9ymanqUArM