<br>
Sipapa mu kkooti…
Omugagga Charles Olim amanyikiddwa nga Sipapa, asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 19, omwezi guno Ogwomwenda, 2022 ku misango mukaaga (6).
Kigambibwa Sipapa y’omu ku bakkondo, abenyigira mu kumenya ennyumba omugagga, munnansi wa South Sudan Jacob Arok, mu kiro kya 28 – 29, omwezi oguwedde Ogwomunaana, e Kawuku, Bunga mu bitundu bye Makindye ne batwala ebintu ebyenjawulo.
Okunoonyereza kulaga nti Sipapa ne banne batwala ebintu omuli ssente Biriyoni emu n’obukadde 600 n’okusoba, amassimu ga iPhone 4, kompyuta za Laptop ekika kya Apple 2, ebikomo bya zzaabu eby’enjawulo nga bya mukyala, ttiivi ya Flat Screen ekika kya Sumsung n’ebintu ebirala.
Sipapa n’omukyala ku kkooti
Poliisi egamba nti baasobola okweyambisa Kalifoomu, okumenya okutwala ebintu ebyo.
Wabula mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Makindye Patience Tukundane, Sipapa ne mukyala we Nakiyimba Shamirah, baguddwako emisango gy’okubbisa eryannyi nga beyambisa ebiragala omuli Kalifoomu.
Mu kkooti, tebakkiriziddwa wadde okuvaamu ekigambo nga bali ku misango gya naggomola era webatyo, basindikiddwa ku limanda.
Sipapa asindikiddwa ku limanda
Oluvudde mu kkooti, munnamateeka wa Sipapa, Abed Nassar Mundyobole agamba nti empalana n’eby’obufuzi y’emu ku nsonga lwaki Sipapa yakwatiddwa.
Mungeri y’emu agamba nti wadde basindikiddwa ku limanda, bagenda kulwana okutuusa nga bagiddwa mu kkomera.
Munnamateeka wa Sipapa
Munnamateeka era agamba nti ebitongole ebikuuma ddembe, tebirina bujjulizi bulaga nti ddala Sipapa yenyigira mu kubba kuba si musajja mubbi.
Awanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe okunoonyereza lwaki Arok, yali ateeka ssente wansi w’ekitanda n’okulaga obujjulizi obulaga nti ddala ssente yazirina.
Yo Poliisi, egamba nti mu kwekebejja amaka ga Sipapa ku kyalo Buwate mu Monicipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso, yazudde ebintu eby’enjawulo.
Poliisi yazuula ddoola 70,000, amassimu ga Iphone 4, laptop 3, ebikomo bya zzaabu, ennamba z’emmotoka ez’enjawulo n’ebintu ebirala.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=revsy7CsbQk
Vidiyo!
https://www.galaxyfm.co.ug/73711b42-5a34-4350-94cc-a1abe2e6309f