ABANTU 20 be bakakasiddwa okuba nti bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Fortportal okudda e Kyenjojo enkya ya leero.
Bus ya kkampuni ya Link nnamba UBA 003S yeliggudde ekigwo ne yefuula emirundi egiwerako nga yakava mu kibuga kye Fortportal e Kabalore.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi ye bidduka Farida Nampiima ategezezza nti akabenje kano babaddewo ku ssawa 4 ez’okumakya,
“Bus ya Link eno ebadde edda Kampala okuva mu kibuga kye Fort portal ebadde yakatambulako kilomita 2 zokka era egudde mu kitundu ekimanyiddwanga Sebitoli”
</a>
Abantu 20 betukakasizza okuba nti bafudde kyokka tusuubira omuwendo guno okweyongerako oluvanyuma lwa batwaliddwa mu malwaliro okuba nti nabo babadde mu mbeera mbi.
13 ku bano babadde bantu bakulu ate 7 baana bato, 11 basajja ate 9 bakyala ebibakwatako tujja kubibabuulira” Nampiima bwagambye
Ayongeddeko nti abakoseddwa baddusiddwa mu ddwaliro lye Buhinga okufuna obujjanjabi
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com