AKULIRA abakozi ba Gavumenti e Kalungu Philda Nabirye Kyendibayiza katono affe essannyu olw'ekirabo kya mmotoka kapyata ekyamutoneddwa abakozi be.
Akulira ebyenjigiriza David Bbaale Mukasa ategeezezza nti Mmotoka bagyesonze ng'abakozi obukadde 40 ne bagitonera CAO Nabirye ng'ekirabo ekimusiibula n'okumusiima olw'emirimo gy'akoledde disitulikiti.
Emukwasiddwa minisitawebyobulimi,obulungi obulungi Vincent Bamulangaki Ssempijja,RDC Pastor Caleb Tukaikiriza,LCV Richard Kyabaggu, omubaka Joseph Ssewungu n'abalala.
Akabaga bakakoledde ku Maria Flo Hotel mu kibuga Masska gye baaniriziddwa Loodimeeya waakyo Godfrey Kayemba Afaayo n'abeebaza ssuula empya gye batandise okusiibula abskozi mu mirembe nga tebabasindiikirizza.
CAO Nabirye awummula mwaka guno emirimo gya Gavumenti oluvannyuma lw'okuwezza emyaka 60 egy'obukulu ngasiimye ab'e Kalungu abakolaganye naye obulungi ate ne bamuweesa ekitiibwa ng'asiibulwa.
Bya Ssennabulya Baagalayina