Ekitongole ekiwooza ky’omusolo ekya URA bebawabaddeyo ebyuma bino okuyambako mu kusomesa n’okutambuza emirimu e Kyankwanzi.
Ddayirekita wa URA John Rujoki Musinguzi bweyabadde awaayo ebyuma bino yagambye nti URA ekolagana ne NALI mu ngeri nyingi era beetegefu okugenda mu maaso n'enkolagana yaabwe.
Ekyuma ekisakuka amaloboozi ekya Public Address System ekyaweeredwayo kyogre eri abantu abasukka 5000, nga kuno yabawereddeko ekyuma kya WiFi n’olutimbe.
Ebintu bino byeyamibwa URA wansi weyali ddayirekita Doris Akol omwaka oguwedde era nga kati byaweereddwayo. Yabiweereddeyo mu kutendekebwa kw’abakozi ba URA abapya abasukka mu 150 abali mu kusomesebwa e Kyankwanzi.
Akulira ettendekero lya NALI Brig Gen Davis Kasura Kyomukama yasiimye URA olw'okubadduukirira n'agamba nti babadde bafuna abantu b’okusomesa kyokka nti tebalina byuma birungi ne basanga obuzibu kyokka kati basuubira nti bino byakubayamba nnyo.
Discussion about this post