GENERAL Elly Tumwine nga ye Minisita we Ggwanga ow’eby’okwerinda alabudde ab’omukago gwa Bulaaya EU ab’efunyiridde okuteeka envumbo ku bamu ku bannaUganda abaagala okugenda mu mawanga gaabwe, nagamba nti nabo bajja kutuusa e kiseera babagaane okuyingira mu Uganda.
“Uganda Nsi nnungi nnyo buli muntu agiyayanira okugikyalirako naddala abazungu, naye abantu bano bwe banaaba tebakomezza kukugira banaffe kugenda waabwe naffe twolekedde okubagaana okujja wano” Tumwine bwe yategezezza.
Okwogera bino Gen. Tumwine yabadde awayamu ne bannamawulire ba Cbs ku mbeera etereddwawo abakungu ba mawanga ga Bulaaya ku bannaUganda, nagamba nti Uganda Nsi eyetongodde etasobola kutisitiisibwa bazungu nga bwe bakola kati.
Yategezezza nti Uganda tekyesigama nnyo ku buyambi buva bweru, nagamba nti nabo nga Gavumenti bafubye okukuza eby’enfuna bye Ggwanga nga mukyo basobola okubaawo nga abazungu tebaliiwo.
Yagambye nti naye nga omuntu baamuteekako envumbo obutalinya waabwe, nagamba nti naye talina kyayagalayo kubanga Uganda ye Nsi ye era yeemu ku zisinga obulungi mu Nsi yonna kye yagambye nti talina yadde ntekateeka yonna yakugenda era naye tabaagala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com