ABANTU abenjawulo buli olukya bavaayo okwegwanyiza ekifo ky’omubaka wa maserengeta ga Mukono, era nga bawera nti kuluno bwe kataligirya wakiri elibiika amasumba.
Tukuletedde Ynginiya Andrew Lule Omutuuze ku kyalo Nangwa ekisangibwa mu gombolola ye Nakisunga, agamba nti afungizza okulaba nga atwala ekifo kino.
Lule gwe twasanze mu makaage agasangibwa e Nangwa twanyumizaamu naye ku nteekateeka zaalina okutwala mu maaso ekitundu kye Mukono South,,,, Agamba bwati;
Amannya gange nze Eng. Lule Andrew nazaalibwa mu mwaka gwa 1971 e Mulago mu ddwaliro, Kitange ye mwami Bernard Lule ne maama Paulina Namubiru abatuuze be Nsambya mu Kampala, kyokka nga bazaalibwa wano ku kyalo Nangwa mu Nakisunga.
Okusoma kwange nakutandikira mu ssomero lya St Peters Nsambya era gye namalira P.7, Siniya esooka okutuuka ku y’okuna nagisomera Kololo SS mu Kampala, ate S.6 ne ngituulira ku ssomero lya Bukoyo SS.
Olw’okuba n ali nkoze bulungi okubala neegatta ku Ttendekero lya Automotive College of Engneering e Iganga, gye nava ne neeyongerayo e Kyambogo Poly Technic ne nyongera okukuguka mu by’okukanika emmotoka nga nkozesa tekinologiya.
Era eno natikkirwa Diploma yange mu bwa yinginiya, ne ntandikira ddala okukola yadde ate era naddayo okusoma nga mu kiseera kino nkola diguli yange mu bwa yinginiya e Kyambogo.
Bwe nali nakamala okusoma era nga nkuguse neegatta ku kkampuni emanyiddwanga Casemets Africa LTD nga eno ya (ALARM group of Componies) era ne bampa ekifo ky’obumyuka bwa maneja eyaliwo mu kiseera ekyo.
Nga ndi mu kifo kino kyanyamba nnyo okuyingiza bannaUganda mu kkampuni eno kubanga yali emaamiddwa nnyo bannaKenya ekyankola obulungi.
Oluvanyuma natandikawo kkampuni yange emanyiddwanga Alt- Aluminium and General Supplies nga eno ekola omulimu gw’okusuubuza ebizimbisibwa, era nga ndi mulimi era omulunzi omukuukutivu wano mu Nakisunga.
Lule lwaki ayingirira eby’obufuzi
Eby’obukulembeze ssi nakabitandika wano abasinga obungi we bandabira, wabula nabitandikira ddala mu massomero gonna mwe mpise, mu Ekelezia ndi mukulembeze wa baami mu kisomesa kye Namuyenje ekintwala, era eno tukoze emirimu mingi okusobola okukumakuma abakirisitu.
Okusalawo kwesimbawo ku kifo ky’obubaka bwa palimenti nakisalawo mu mwaka gwa 2018, oluvanyuma lw’okulaba nga ekitundu kyaffe kineetaaga okusobola okufuna enkulakulana ey’omuggundu, Njagala okuteekawo esuubi eri abantu baffe omuli abakuze mu myaka n’abato nga nteesa saako n’okuteeka mu nkola emirimu egibagasiza awamu mu kitundu kyaffe.
Ndi omu nzekka ku bantu abavuganya e Mukono South aludde nga alina amaka mu kitundu kino abalala bazimbye baagala byabukulembeze, nga kino kinyambye nnyo kwetegereza ebizibu ebisoomoza abantu baffe.
Lule ku kkono mu lumu ku lukungaana zazze akuba mu Mukono SouthMu kitundu kino ekye Nangwa najjayo nga kyalo nnyo naye nasobola okuleeta amasanyalaze ku kitundu n’amazzi ebikoze ekinene okuleeta enkulakulana ku kitundu.
Nzimbye enzizi mu kitundu kyaffe kubanga ekizibu kya mazzi eri abantu baffe abawansi kyali kinene nnyo, era nga bangi kubo baali banywa na bisolo, ekyo ne nkikolako mu bwangu.
Nsomesezza abavubuka ebikwatagana ku byenkulakulana nga batereka era kati bangi kubo balina we bayinza okujja akasente nga basanze obuzibu mu maka gaabwe saako n’okuwerera abaana baabwe.
Aba Boda boda mu kitundu kino banenyumirizaamu nnyo kubanga mbayambye okufuna zi Driving Permits ne bilala bingi.
Lule byasuubira okukola
Njagala okulaba nga ntekawo amassomero agebyemikono mu kitundu okusobola okuyamba ku bavubuka naddala abo abatagendako mu massomero era nga kati maze okukwatagana ne bannanyini ma garagi saako naabo abookya ebyuma okusobola okunkwasizaako mu kawefube w’okuyamba abavubuka okufuna amagezi agakola ebintu ebyenjawulo bafunemu ku nsimbi ezibabeezawo okusinga okulera engalo.
Nakizuula mwattu nti okwogera oluzungu olungi mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu tekirina kye kiyamba bantu be tukiikirira, okujjako kye tulina okukola kwe kubafunira emirimu gy’omumutwe beenonyeze ekigulira magala eddiba.
Okujjanjaba abakadde mu kitundu kino kye kimu ku bigenda okuba ku mwanjo ennyo mu ntekateeka zange era maze okukwatagana nagamu ku malwaliro mu kitundu kino, tubeeko enkola gye tukolamu nga banyamba okujjanjaba abakadde nga nze omulimu gwange kusasula, era abasinga kino bakikkirizza.
Lwaki nzize bwanamunigina?
Nasalawo okujja okuvuganya ku lwange nzekka nga omuntu kubanga njagala nnyo okugatta abantu be Mukono South abalabika nga mu kiseera kino beeyawuddemu nnyo olweby’obufuzi, era bano nkizudde gye ntambulidde nga babuzabuziddwa nnyo bannabyabufuzi abatalina yadde kye babayambye.
Abaana ba Yinginiya LuleBannabyabufuzi eno ewaffe balimbalimba nnyo nti bakola emirimu egitali gyabwe atene bateekawo abantu mikwano gyabwe abava mu bibiina bye bakkiririzaamu ne bannyikiza obulimba, kino nze nga omuntu sikikiririzaamu kyova olaba nzize ku lwange nga Lule.
Lule musajja mufumbo era alina omukyala Sylivia Zawedde Lule saako n’abaana abawerako era nga basomye…..
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com