OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti Mary Babirye Kabanda awadde abazadde n'abasomesa be Busujju mu Mityana essannyu n'essuubi ery'okubakwatizaako mu kusitula omutindo gw'ebyenjigiriza.
Bano abazimbidde ekisulo ky'abalenzi okuli kaabuyonjo n'ebinaabiro ku ssomero lya StHenry SSS Misigi okuliraana ennyanja Wamala ewakiikirirwa mubaka munne David Lukyamuzi Kalwanga.
Ku mukolo gw'abitongolezza,aboongerezaako emifaliso, ebitanda, amasuuka ne bulangiti.
Omubaka Kabanda abategeezezza nti obuyambi abubasakidde mu mikwano gye abazungu aba Crossing Border abakolagana n'ekikye ekya Babirye Kabanda Development Foundation.
Ajjukizza Bannayuganda nti basosowaze nnyo eby'enjigiriza lwe bajja okukuumira Uganda ku ntikko.