Abaali abakozi ku Palamenti, abaakwatibwa ku misango gy’obulyake n’obukenuzi e Wandegeya, basindikiddwa mu kkooti enkulu evunaanyizibwa ku misango gy’obulyake n’obukenuzi okutandika okuwozesebwa.
Bano kuliko
1 – Omwogezi wa Palamenti – Chris Ariko Obore
2 – Akulira eby’emirimu mu SACCO ya Palamenti – Murebe Methos
‘
width=”300″
height=”120″
style=”border:none; overflow:hidden;”>
3 – Akulira okuwandiisa abakozi ku Palamenti – Adilo Daniel
4 – Omuwandiisi mu offiisi ya sipiika – Okema Leonard
5 – Akulira eby’okunoonyereza – Rajab Kaaya Ssemalulu
6 – Omuyambi wa palamenti – Supervisor mu offiisi ya Sergeant-at-Arms
7 – Avunaanyizibwa ku by’enkulakulana ku Palamenti – Otebata Vicent
Emisango baagiza wakati wa 2023 – 2026 mu kiseera nga Anita Annet Among, mukyala wa Moses Magogo ye sipiika wa palamenti.
Okunoonyereza kulaga nti bonna 7, beenyigira mu kutwala ssente Biriyoni 31.825
1 – Obore – shs 5.2B
2 – Adilo – shs 14.6B
3 – Okema – shs 3.48B
4 – Rajab Kaaya – shs 2.17B
5 – Okwi Emmanueal – shs 1.1B
6 – Itute Stella – shs 75M
7 – Otebata Vicent – shs – 5.2B
Abajjulizi kuliko
– Abakungu okuva mu Cairo Bank
– Bakaminsona ba Palamenti
– Abanoonyereza ba Poliisi
– N’abantu balijjo abaali oganyulwa mu ntekateeka okuva e Bukedea, Gulu, Mbale, Arua, Koboko, Soroti, Rakai
– Ebiwandiiko bya Banka eby’enjawulo
– N’ebiwandiiko byonna ebigingirire.
Omulamuzi era ayisizza ekibaluwa ki bakuntumye Itute Stella, aliira ku nsiko mu kiseera kino.
Wabula omulamuzi wa kkooti enkulu mu kkooti y’emu ku misango gy’obulyake n’obukenuzi yalangirira nga 19, September, 2026, okuwa ensala ye, kukusaba okweyimirirwa – https://www.youtube.com/watch?v=91zLMDuxPGA&t=3s
