Poliisi eriko abantu bekutte ku misango gy’okutta Owor David, eyabadde Kaputeyini wa SC Villa, wiiki ewedde.
Owori yakubiddwa abantu, bwe yabadde addayo awaka ku Lwokubiri ekiro nga 4, August, 2026 bitundu bye Dubai Zone, Makindye II, Makindye mu Kampala era yafiiridde mu ddwaaliro lya Case Clinic mu Kampala ku Lwokusatu emisana.
Yaziikiddwa ku Lwomukaaga e Tororo nga 8, August, 2026.
Wabula wakati mu kunoonyereza, Poliisi egamba Owori bwe yakubwa, abatemu batwala essimu ye ekika kya iPhone 14 Pro Max.
‘
width=”300″
height=”120″
style=”border:none; overflow:hidden;”>
Poliisi yasobodde okulondoola essimu era yasobodde okukwata abantu 2 okuli
– Munyaneza Bashir amanyikiddwa nga Jemo
– Magoba Samuel, abaludde nga beenyigira mu kutunda amassimu amabbe.
Poliisi era esobodde okuzuula amassimu amalala, nga kigambibwa gonna mabbe okuli
– Amassimu gamapeesa 3
– iPhones 80
– Samsung 40
– Redmi 8
– Tecno 2
– Infinix 2
– Vivo 2
– Layini z’amassimu (MTN, Safaricom, Airtel, Lyca)
Poliisi era yasobodde okuzuula ensawo z’abakyala wabula mu kiseera kino, okunoonyereza kugenda mu maaso – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=54s
